Amawulire
Owa NRM awangudde obwa ssentebbe e Kayunga
Bya Ritah Kemigisa
Akulira byokulondesa mu disitulikiti ye Kayunga Jennifer Kyobutungi alangiridde owa NRM Andrew Muwonge ku buwanguzi, ku kifo kya ssentebbe wa disitulikiti eno.
Bwabadde alangirira ebyenkomeredde, ebyavudde mu kalaulu aka kaasa meeme, okulonda okwetabiddwamu abantu 6, Kyobutungi agambye nti Muwonge awangudde nobululu emitrwalo 3 mu 1,830.
Muwonge agobereddwa owa NRM Harriet Nakwede owa NUP ngono afunye obululu emitwalo 3 mu 1,308.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire, nga yakawangula okulonda kuno, Muwonge yeyamye okuwereza abantu be Kayunga.
Asabye abantu okukuuma emirembe nobumu.
Wabula abekibiina kya NUP bawakanyizza ebyenkomeredde ebirangiriddwa.
Amyuka omwogezi wekibiina Alex Waiswa Mufumbiro agambye nti balina obukakafu, baawangudde okulonda kuno n’obululu emitwalo 3 nekitundu.
Waisswa agambye nti bakiririza mu mirembe, era bagenda kuddukira mu kooti okuwakanya ebivudde mu kulonda.
Omubaka wa munisipalai ye Mukono Betty Nambooze alumirizza nti okulonda kuno kwababade obubbi obwenkukunala.
Yye omuddumizi wa poliisi e Kayunga Felix Mugizi agambye nti okulonda kuno kwabadde kwa mirembe.
Ate abalondoozi bokulonda mu mukago gwa Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda bawabudde akakiiko kebyokulonda bulijjo, okuyigiranga ku kulonda okuberawo owewala ensobi zezimu okuddamu okuberawo mu biseera ebyomu maaos.
Okuwabula kuno kukoleddwa akulira omukago gwa CCEDU nga ye Charity Ahimbisibwe bwabadde ayogera ku kulonda kwe Kayunga okwa ssentebbe wa disitulikiti.
Ahimbisibwe agambye nti ebivudde mu kulonda ebiriko akabuuza, byebivaamu enkayana ezitaggwa mu byokulonda nobukulembeze.