Amawulire

Owa poliisi asobeza ku musibe

Ali Mivule

March 14th, 2014

No comments

 Nabakooba

E Soroti omusirikale wa poliisi akwatiddwa lwa kusobya ku musibe omukyala abadde agaliddwa mu kaduukulu ka poliisi lwa bwenzi .

Omusirikale ono ategerekeseko erya  Olinga avunanibwa kukakana ku  Susan Alungat 20, omutuuze ku kyalo  Olwelai namukaka omukwano.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’obuvanjuba bw’ekitunu kya kyoga , Juma Hassan Nyene, avumiridde ekikolwa kino nawera nga omusirikale ono bwagenda okuvunanibwa era wakukangavvulwa singa gunamukka mu vvi.

Ye omuwala atwaliddwa mu ddwaliro e Soroti akeberebwe balabe oba ddala yakakiddwa omukwano.