Amawulire
Ow’emyaka 33 afiridde mu mpaka za walagi
Bya Sadat Mbogo
Poliisi y’e Buwama mu disitulikiti ‘e Mpigi etandise okunonyereza ku nfa y’omusajja agambibwa nti yafudde oluvanyuma lw’okwenyigira mu mpaka z’okunywa waragi ayitibwa Twebeereremu.
Omugenzi ategeerekese nga ye Farouk Muwonge abadde aweza emyaka 33, omusuubuzi wa scrap mu Buwama A mu tawuni kanso ye Buwama.
Kigambibwa nti bino byabaddewo akawungeezi akayise, ng’ali ne munne Bosco n’abalala, baawakanye ani asinga okuwunziika kyokka ekyembi Farouk n’afa nga kigambibwa yenyigidde mu mpaka zino nga tannalya mmere.
Atwala okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Buwama Paul Nabende agambye nti omulambo bamaze okugutwala mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa ng’okunonyereza kugenda mu maaso.