Amawulire
Ow’emyaka 45 bamusibye 15 olw’okusobya ku mwana
Bya Malikh Fahad
Kooti enkulu e Masaka eriko omusajja owemyaka 45 gw’esibye emyaka 15 mu kkomera olw’okusobya ku mwana ow’emyaka 13.
Moses Wepukulu omutuuze ku kuyalo Kigungumika mu district ye Bukomansimbi, omulamuzi Winfred Nabisinde yamukalize oluvanuma lwa ye kennyini okukiriza omusango ogumuvunanibwa.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Akasa lutegezezza kooti nti omuvunanwa omusango yaguzza nga 25th mu January wa 2019, bweyateega akwala akano nga kaddayo ewaka, nakawalabanya ppaka mu lusuku nakamalirako ejjakirizi.