Amawulire
Ow’emyaka 70 bamutidde mu nnyumba
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Ntungamo etandise okunonyereza, ku butemu obwakoleddwa ku namukadde owemyaka 70 Ndebesa Dodoviko.
Ono abatamanya ngamba baamuyingiridde mu nnyumba nebamutta, nga bino bibadde ku kyalo Miizi-Kabingo mu Buhanama ward mu town council ye Nyamukana.
Muzzukulu we yamusanze mu nnyumba nga mufu, ngomulambo guliko ebiwundu nebikuyiro nayita poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu Eli Matte, akaksizza nti abantu 2 okuli Bamuturebye Kasim ne John Atwijukire bakwatiddwa bayembeko mu kunonyereza.
Ababiri bano, batabani bomugenzi.