Amawulire

Owemyaka 73 akyabuze e Mipgi

Ivan Ssenabulya

March 10th, 2021

No comments

Bya Sadat Mbogo

Ab’oluganda, n’abatuuze ku kyalo Mpaffe mu muluka gw’e Bulunda, mu gombolola y’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi bali mu kutya, oluvanyuma lw’okubula kwa munaabwe.

Yozef Ssewanyana owemyaka 73, abatuuze baafuna amawulire g’okubulawo kwe, nga kigambibwa nti yabuzibwawo okuva mu maka ge mu kiro ekyakeesa Olwokutaano, basambye ensiko naye abuze.

Kati abatuuze, nga bakulembeddwamu difensi w’ekyalo Samuel Musinzi batubuliidde nti bekubidde enduulu mu b’obuyinza okuli n’ebitongole by’ebyokwerinda naye tebanayambibwa.