Amawulire
Paapa ajja omwaka Gujja- Musumba bamukunya
Paapa Francis amaze okukakasa nga bw’ajja okukyala mu Uganda omwaka ogujja
Paapa asuubirwa kwetaba ku mikolo gy’abajulizi omwaka ogujja e Namugongo nga Eklezia erangirira nga bwegiweza emyaka ataano bukyanga balangirirwa mu lubu lw’abeesiimu.
Paapa okukakasa abadde asisinkanyeemu pulezidenti Museveni mu kibuga Vatican
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa ofiisi y’omukulembeze w’eggwanga kiraze nti papa yesunga okujja wano kubanga omukolo mukulu
Nga bino nno ate biri bityo ,amyuka akulira ekibiina kya FDC mu buvanjuba bw’eggwanga Salaam Musumba ali mu kattu lwakukkiriza kutambula ne pulezidenti Museveni okugenda e Rooma.
Musumba yeeyakulembeddemu abakulembeze ba gavumenti z’ebitundu abali mu kibuga Rome nga bano era baamaze dda okusisinkanamu papa.
Omwogezi wa FDC John Kikonyogo agamba nti Musumba teyategeezaako ssabawandiisi wa kibiina nti agenda kutambula ne pulezidenti Museveni era yandikangavvulwa ssinga takola kunyonyola kumala.
Kikonyogo agamba nti Musumba ennaku zino akukuta nnyo ne pulezidenti Museveni ekitandise okulowoozesa abantu nti oba yasala dda eddiiro.