Amawulire
Palamenti ekungubagidde Njuba, Semajege
Ababaka ba palamenti okuva mu bibiina by’obufuzi eby’enjawulo bakungubagidde omugenzi Sam Kalega Njuba mu lutuula lwa palamenti olwenjawulo.
Ababaka b’amajje okuli Gen. Elly Tumwine ne Major Sarah Mpabwa, nabalala okuli Ibrahim Nganda ne Medard Ssegona batenderezza nyo omugenzi.
Mu ngeri yeemu ne ssabaministe wa Uganda John patric Amama mbabazi ayogedde kumugenzi.
Yye akulira oludda oluvuganya gavt Nathan Nandala Mafaabi naye ayogede kumugenzi.
Mu buufu bwebumu, ekibiina ekya The Democratic Party nakyo kyogedde ku mugenzi nga omukulembeze Nantazikawo era abadde agobererea enono za democracia.
Omubaka Fred Mukasa Mbidde nga ono ye munnamateeka w’ekibiina agambye nti Njuba abadde agondera ekibiina era agobererea omutima gwe era nga tamala gawugulwa.
Njuba aziikiddwa akawungeezi ka leero ku bijja bya ba jajja be e Nangabo.
Mu ngeri yeemu era palamenti ekungubagidde oweek, Higiro Ssemajege ng’ono aziikibwa lunaku lwa nkya.