Amawulire
Palamenti egenda kuddamu okutuula ne City Hall egenda kuggulwawo
Bya Prosy Kisakye ne Damalie Mukhaye
Palamenti egenda kuddamu okutuula olwaleero, ngebadde yayimiriza emirimu gyayo oluvnyuma lwa bbomu eyakubwa ku Lwokubiri okulinaana wofiisi ya kalisoliiso wa gavumenti, kinnya nampindi ne palamenti.
Kino kikakasiddwa, kalaani wa palamenti Adolf Mwesige.
Palamenti egenda kutuula, ngababaka bagenda kutandikira ku kuteesa ku mbeera yebyokwerinda mu gwanga.
Abamu ku babaka ba palamenti, bataubuliidde nti embeera yebyokwerinda mu gwanga yeralikiriza.
Olunnaku olweggulo, werwatukidde ngomuwendo gwabantu abakafa oluvanyuma lwa bbomu, ezemirundi 2 ezakubwa gutuuse ku bantu 7.
Ate abakulu ku kitongole kya Kampala Capital City Authority bategezezza nga wofiisi zaabwe, bwezigenda okuggulwawo olwaleero.
Ekitebbe kya KCCA zezimu ku wofiisi ne business, ezaggalwa oluvanyuma lwa bbomu ezakubwa ku Lwokubiri.
Wabula poliisi etegezezza nga Mukwano Courts ne business endala eziri ku Buganda Road, okutukira ddala ku CPS bwezigenda okusigala nga nzigale.
Amyuka ssenkulu wa KCCA Deputy Executive David Luyimbazi Ssali, akaksizza nti bagend kuggulawo.
Wabula agambye nti ebyokwerinda binywezeddwa, era bagenda kubeera bu;indaala.