Amawulire

Palamenti eragidde ku mwana eyattibwa ku KCCA

Ali Mivule

December 3rd, 2014

No comments

KCCA body

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagidde minisita akola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga okuvaayo ne alipoota ku kufa kw’omwana eyattibwa ku wofiisi ya KCCA

Omwezi oguwedde omwana ow’emyaka 2, Ryan Semaganda yafotoolwa mmotoka ya KCCA nyina bwebalai bamukutte nga bamuvunaana kutembeeyeza ku nguudo za kibuga

Omubaka we Lubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante ensonga eno y’agireese mu palamenti ng’agamba nti kyewunyisa nti nakati gavumenti tennavaayo na kiwandiiko kinyonyola byaliwo

Kasibante agamba nti palamenti yeetaga okumanya wa KCC w’etuuse ku nsonga z’omwana ono n’okugogolola basajja baayo abakwata obubi abatembeeyi ettumba.

Yye omugoba wa motoka ya kcca eyalinya omwana n’amutta, alagiddwa addiziddwaayo ku alimanda .

Baguma Anwali leero alabiseeko mu kooti ya Buganda Road , era navunanibwa ogwa bulagajavu kko n’obutafaayo ,bweyali adda emabega , okukakana nga atomede omwana namutta.

Wabula munnamateeka we Michael Mukwana ategezezza kkooti nga bw’akyakunganya obujulizi obuwolereza Anwali , kubanga abadde yakafuna ebiragiro by’okuwolereza omuntu ono.

Omulamuzi  Araali Muhirwa okuwulira omusango akwongeddeyo n’alagira dereeva ono okudda mu kkooti nga 16 ne 17 omusango gwe guwulirwe.