Amawulire

Palamenti esabye govt okuyingira munkayana zábasiraamu omuli nómuzikiti gwa Gaddafi

Palamenti esabye govt okuyingira munkayana zábasiraamu omuli nómuzikiti gwa Gaddafi

Ivan Ssenabulya

December 5th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Palamenti esabye gavumenti eyingire mu nkayana z’abasiraamu ezizingiramu okutunda omuzikiti gwa Gaddafi ogusangibwa ku Old Kampala okusinga okulinda ensala ya kkooti.

Kino kiddiridde omubaka wa Munisipaali y’e Bugiri, Asuman Basalirwa okuleeta ensonga eno ku mwaliiro gwa palamenti ng’ayagala okumanya oba gavumenti yeeralamye ensonga eno olw’okutya okuwulira ebyobufuzi, eby’omwoyo n’ebyokwerinda ebiyinza okuvaayo.

Basalirwa ayongedde okutegeeza palamenti nti Old Kampala kifo kya bulambuzi era kya bugagga eri eggwanga ekitateekeddwa kulekebwa

Emirerembe gyonna ku kutunda ebintu byóbusiraamu omwenda zaatandika n’omusuubuzi Justus Kyabahwa bwe yayagala okutunda ebizimbe byóbusiraamu omuli n’omuzikiti gwa Gadaffi asobole okugyaayo ssente ze ezaali ziwera obuwumbi 18 n’obukadde 900 oluvannyuma lw’okugula faamu y’Abasiraamu e Ssembabule ewezaako yiika 517 mu mwaka gwa 2020 kyokka aba-Uganda Muslim supreme Council nókutuusa kati bakyaganye okumukwasa ekyapa kye.

Sipiika wa Palamenti Anita Among asabye gavumenti eyingire mu bwangu mu ensonga eno egonjoolwe ebweru wa kkooti era agaanye ababaka okugikubaganyako ebirowoozo