Amawulire

Palamenti esiimye tiimu ya Rugby ku buwanguzi bwebatuuseeko

Palamenti esiimye tiimu ya Rugby ku buwanguzi bwebatuuseeko

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Ivan Ssenabulya,

Palamenti esimye tiimu ye ggwanga eya Rugby okuwangula empaka za Africa eza Rugby.

Ku wiikeendi tiimu ya Uganda yakuba ey’eggwanga lya Mozambique ku bugoba 28-00 ku kisaawe e kyadondo

Bwetyo neyesoga empaka ezidako ezensi yonna eza World Cup Rugby Sevens ezigenda okubaawo mu gwomwenda mu South Africa neza Common Wealth games ezigenda okutojera mu mwezi ogwmusanvu omwaka ogujja.

Bwabadde agulawo olutuula lwaleeo amyuka sipiika Thomas Tayebwa yebaziza ekibiina ekidukanya omuzanyo gwa Rugby mu ggwanga ekya Uganda Rugby Union ne minisitule eye byemizannyo olwokuwanika bendera ya Uganda.

Tayebwa era asabye ababaka okulaba nti ebyemizaanyo biweebwa ensimbi ezimala mu mbalirira ye ggwanga.

Ate ekibiina ki Federation of International Football Stadium kizeemu ne kironda ekisaawe ekya St Mary’s Stadium e Kitende, nga gano g’emaka ga Vipers okuba ekisaawe kyokka mu Uganda ekitukagana nómutindo gwe bisaawe byensi yonna.

Ekisaawe kino kyatuuzako empaka zensi yonna omuli 2022 World Cup qualifiers, AFCON qualifiers, CAF Champions League, CAF Confederation Cup nendala.