Amawulire

Palamenti eyisiza etteeka ku bidduka n’obukuumi bw’okunguudo

Palamenti eyisiza etteeka ku bidduka n’obukuumi bw’okunguudo

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2023

No comments

Bya Damali Muhkaye,

Palamenti eyisizza ebbago ly’etteeka erifuga ebidduka n’obukuumi ku nguudo erya Traffic and Road Safety (Amendment) Bill, 2023.

Mu tteeka lino poliisi yébidduka egoberera okulaba nti wabaawo ekkomo ku sipiidi abebidduka gyebakozesa kunguudo, era abatagondere tteeka lino bakutanzibwa okuyita mu ntekateeka eya Express Penalty Scheme.

Omuvuzi analemererwa okugoberera ekkomo ku sipiidi erambikiddwa wansi w’akatundu (1) aaba asizza omusango era, bw’asingisibwa omusango guno asasula engassi etassukka Shs2m oba okusibwa emyaka esatu oba byombi.

Bwabadde ayogera ku bbago lino Ssaabawolereza wa gavumenti agambye nti abavuzi bagenda kuba balina pamiti ne badge etagenda kusasulibwa

Bino webijjidde nga wiiki y’ekibiina ky’amawanga amagatte ey’obukuumi ku nguudo mu nsi yonna etandise ytandise nga May 15th-21st, wansi w’omulamwa; “Ddamu okulowooza ku ntambula, Kulembeza engeri z’entambula ezisobola okuwangaala n’okutondawo enguudo ezitali za bulabe”.

Okusinziira ku kibiina ky’amawanga amagatte, obuvune ku nguudo bwe businga okutta abaana, abatiini n abavubuka okuva ku myaka 5-29.