Amawulire

Palamenti eyisizza ekiteeso ku mpisa n’ababaka bemulugunya ku nguudo

Palamenti eyisizza ekiteeso ku mpisa n’ababaka bemulugunya ku nguudo

Ivan Ssenabulya

October 21st, 2021

No comments

Ababaka ba palamenti naddala okuva mu mambuga gegwanga, batadde minisitule yebyentambul ku nninga olwengeri gyebagamba nti ssi yabwenkanya, gyebagabanyizaamu okukola enguudo mu gwanga.

Bwebabadde baanukula ku kiwandiiko okuva mu minisitule eri palamenti, omubaka omukyala owa disitulikiti ye Oyam Sandra Santa Alum, owe Koboko James Baba nowe Kapelabyong Julius Ochen banenyezza gavumenti obutakola kimala okukakasa nti nabo bafuna ku ngudo ennungi.

Bagambye nti mu nkuba namutikwa ebadde etonnya, enguudo nnyingi zisigadde teziyitikamu atenga mu bitundu byegwanga ebiralal, bawulitre abaayo enguudo ziri kakeeka.

Mungeri yeemu, palamenti eyisizza ekiteeso ekikwata mbeera yemspisa zabantu zebagambye nti zigenze zikendeera ekivuddeko obulabe bungi mu gwanga.

Ekiteeso kino kireteddwa omubaka wa Bufumbira East James Nsaba Buturo ngagambye nti kino kyekivuddeko obuli bwenguzi okweyongera, obubbi, obutemu, okujjamu embuto, obwenzi nokwetunda, ebisiyaga, okulemererwa okuvunaana abazzi bemisango.

Asabye palamenti okuyita mu kiteeso kino, eteeke gavumenti ku nninga okubaako kyekola okusobola okutereeza nokutebenkeza egwanga.

Nsababutuuro era ayagala gavumenti ereete essomo erikwata ku mpisa liretebwe, abantu baddemu obuntu bulamu, bayige okwagala, okufaayo eri banaabwe, okugabana ku byebalina ne banaabwe.

Kati omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanya agambye nti ensonga zino zetaaga okwongera okutesebwako, okusobola okubeera nabatuuze abalungi.