Amawulire
PLE afulumye, ebyabayizi 2,220 bikwatiddwa
Bya Damalie Mukhaye
Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda national examination board bategezezza nga bwewabaddewo enjawulo ngabayizi bekyomusanvu abomwaka 2020, bakoze bulungi ko bwogerageranya ku bomwaka ogwayita, waddenga basanga okusomozebwa okwamaanyi olwa ssenyiga omukambwe.
Bwabadde afulumya ebyava mu bigezo bya PLE, omukolo ogwategekeddwa mu maka gobwa pulezidenti Entebbe Ssabawandiisi wa UNEB Daniel Odongo, agambye nti ku bayizi emitwalo 73 mu 4,788 abatuula, abayizi emitwalo 65 mu 9,910 bayise era bakweyongerayo nemisomo gyabwe.
Abayizi emitwalo 8 mu 1,864 baayitidde mu ddaala erisooka, emitwalo 33 mu 4,711 mu daala eryokubiri, abayizi emitwalo 14 mu 6,142 mu daala eryokusattu atenga emitwalo 9 mu 7,193 bebayitidde mu daala eryokuna.
Kakati abayizi emitwalo 7 mu 4,875 bebagudde nenkoona nenywa.
Mungeri yeemu, ekitongole kyebigezo kikutte ebigezo byabayizi 2,220 bikyanonyerezebwako.
Abasomero agasinga ebigezo ebikwatiddw gaamu kitundu kya Rwenzori mu disitulikiti ye Bundibugyo ne Kasese.
Odong awadde obweyamu nti abayizi, ebigezo byabwe ebikwatiddwa, bakuweebwa obwenkanya balamulwe bulungi okunonyereza bwekunaaba kuwedde.
Agambye nti abebyokwerinda baliko abatambuza ebigezo bebakwata mu disitulikiti ye Nakasongola nemu ttunduttundu lye Masaka nga basomodde ebogezo.