Amawulire
PLE atandise- awamu bakereeye
Nga ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu ebyakamalirizo bikyagenda maaso,waliwo omusomesa akwatiddwa poliisi y’e Nateete ku bigambibwa nti yabbidde abayizi ebibuuzo.
Ono nga musomesa ku ssomero erimu e Nateete kigambibwa nti ekiro y’asangiddwa nga asomesa abayizi n’empapula ezigambibwa okubeerako ebibuuzo byenyini ebituuliddwa amakya galeero.
Nga ayogerako nebannamawulire amakya galeero, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba omusomea ono akyakumibwa ku poliisi nga okunonyereza bwekukyagenda maaso.
Ate Mu disitulikiti ye Pader abalina obulemu ku mibiri gyaabwe bibasobedde.
Waliwo omuyizi w’essomero lya Paipir Primary school nga muzibe asigadde nga bimusobedde lwabutaba na mutaputa nga banne batuula ebigezo bino.
Okusinziira ku Mukulu w’essomero lino Poline Lanyero baasindika dda okusaba kwabwe okufuna omutaputa w’omwana ono eri ekitongole ky’ebyebigezo ekya UNEB wabula tebaddibwangamu.
Kati akola ku bantu abali mu kiti ekyenjawulo mu ofiisi y’akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti eno Margret Lanyero ategezezza nga bwebanonyezza omutaputa okuyamba omwana ono naye nga mpaawo gwebaafunye.