Amawulire
Poliisi abategese okulumba ttabamiruka wa NRM
Poliisi egamba nti egudde mu lukwe lw’abantu abagaala okutataaganya ttabamiruka w’ekibiina kya NRM ku bbalaza
Ssabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura agamba nti ebibinja bino bya bavubuka abeeyita balunkupe ababadde bategeka enkiiko ezitali zimu mu kibuga
Kaihura agamba nti era waliwo ssente eziweebwa abavubuka nga ziyita ku mobile mane eri abavubuka okwetaba mu kwekalakaasa ku bbalaza.
Kayihura wabula agamba nti poliisi emaze okuyiwa basajja baayo mu buli kasonda okwewala akavuyo k’ekika kyonna.