Amawulire

Poliisi e Entebbe ekutte eyawamba omwana n’amutta

Poliisi e Entebbe ekutte eyawamba omwana n’amutta

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga, 

Poliisi e Entebbe etandise okunonyereza kunfa yómwana owemyaka 6 omulambo ogwazuulibwa oluvanyuma lwa kitaawe okulemererwa okusasula ensimbi obukadde 4 ezamusabiddwa abamuwamba.

Taata wómwana ono anyonyodde nti mutabaniwe yabuzibwawo nga 3, 2021 ne baloopa omusango ku poliisi ye Kasenyi wabula nga July 5, bafuna essimu okuva eri abawamba omwana nga basaba obukadde 4 zaatalina

Omwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire, agambye nti taata yasobola okutegeera eddoboozi lyomuwambi era nakwatibwa

Kati ono yabuulidde poliisi omulambo gw mwana gyeguli.