Amawulire

Poliisi e Jinja ekutte emmotoka 30

Poliisi e Jinja ekutte emmotoka 30

Ivan Ssenabulya

July 5th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Emmotoka amakumi 30 zezikwatiddwa abobuyinza e Jinja olwokumenya amateeka goku nguudo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kiira Dianah Nandaula agambye nti abamu babadde bavuga mmotoka, eziri mu mbeera embi, okuvuga nga banywedde.

Ategezezza nga bwewaliwo neba dereva abali ku nduudo bebakautte nga tebalina permit.

Nandaula agambye nti mmotoka zino baazikwatidde mu kiddo kyebasudde ku lutindo lwomugga Kiira.