Amawulire
Poliisi e Jinja etaddewo emitwalo 30 okuzuula abamenyi bámateeka
Bya Mike Sebalu,
Poliisi e Jinja etaddewo emitwalo 30 ku buli muntu, ku bantu 6 abagambibwa okubeera abamenyi bámateeka abayiggibwa mu kiseera kino babinyisse mu nsuwa, bano nga bamu ku babadde basuza abantu mu bitundu eby’e Jinja nga tebeebase.
Ayogerera Poliisi mu bitundu bya Kiira James Mubi, atubuulidde nti omugatte gwa shs akakadde kamu némitwalo 80 egigenda okukozesebwa mu muyiggo guno era nga y’omu ku kawefube gwebatandiseeko ow’okufuuza abamenyi obubadde bukudde ejjembe mu bitundu byé Jinja.
Mubi era atubuuliide ne ku mukyaala gwebakutte ng’ogugwe kubadde kubega bifo bano gyebanabba ate ng’eno bwabaguza n’enjaga ekintu ekimenya amateeka.