Amawulire
Poliisi ekutte omukulu wéssomero eyalya ensimbi za bayizi ezé bigezo
Bya Abubaker Kirunda,
Poliisi mu ggombolola y’e Namutumba ekutte omukulu wessomero ku bigambibwa nti yabulankanya ssente z’ebigezo by’abayizi basiniya eyokuna ne basubwa okukola ebigezo ebyakamalirizo ebyatandise ku ntandikwa ya wiiki eno.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga east Diana Nandawula agamba nti omukwate abadde akulira essomero lya Bugobi modern senior secondary school mugomolola ye Bulange.
agamba nti essomero lino lirina abayizi kkumi na musanvu mu senior four kyokka omukwate yawandiisa basatu bokka ku Uneb era kigambibwa nti yabulankanya ssente z’okwewandiisa abayizi kkumi na bana.
Nandawula mu kiseera kino asabye abazadde bulijjo okukwatagana n’amasomero okukakasa nti abaana babwe bawandiisibwa mu UNEB.