Amawulire

Poliisi efulumiza ebiragiro ebikkakali eri abagenda okutulisa ebiriroliro mu kumalako omwaka

Poliisi efulumiza ebiragiro ebikkakali eri abagenda okutulisa ebiriroliro mu kumalako omwaka

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nga bannaUganda beetegekera okujaguza okumalako omwaka 2022 ekitongole kya poliisi kifulumizza ebiragiro ebikambwe eri abasirikale baayo awamu n’abaddigize.

Ebifo byonna ebigenda okutulisa ebiriroliro biteekeddwa okulondoolebwa okuva ku ntandikwa nga bateekateeka ebifo webagenda okubikubira, era nga biteekeddwa okuba nga bikubwa bigenda waggulu sossi kusaasaana.

Ebyuuma ebizikkiriza omuliro biteekeddwa okubaawo mu bujuvu, abantu abaliraanye ekifo ewokutulisizzaa ebiriroliro bateekeddwa okumanyisibwa nebintu ebirala.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ategezeza ng’abantu bwebatasaanye kukungaanira mu kifo webagenda kutulisizza biriroliro bino, era nga n’okwegendereza embeera yobudde nebintu ebirala birina okufibwako.

Ab’ebyokwerinda balina olukusa okuyimiriza ekifo kyonna ssinga banakizuula nti tebalina byetaagisa kuteekateeka biriroliro bino.

Ebifo 1,430 by’ebiweereddwa olukusa okutulisa ebiriroliro okwetoloola eggwanga lyonna nga muno mulimu amasinzizo, woteli nebifo ebisanyukirwamu.