Amawulire

Poliisi ekutte abakuumi abasse Dereeva

Poliisi ekutte abakuumi abasse Dereeva

Ivan Ssenabulya

March 13th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Poliisi y’e Nateete ekutte abakuumi ab’obwannannyini 2 ku misango gy’okutta ddereeva eyatomera ofiisi zebakuuma.

Bino byabadde ku kizimbe kya Nateete Agape ku ofiisi ya Pride Microfinance nga kigambibwa nti omugenzi emotoka yamulemerera nayingirira ekizimbe kino kwekumukuba amasasi agamugya mu budde.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero ku kitebe kya poliisi e Nagguru amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agamba nti ddereeva eyakubiddwa amasasi kigambibwa nti babadde atamidde.

Abakwatibwa kuliko Mazende Herbert ne Twine Akram nga bano bakunya.