Amawulire
Poliisi ekutte abalala ku kufa kw’abasiraamu
Poliisi eyongedde okukwata abantu ku byekuusa ku kuttibwa kwa bakulembeze b’abayisiramu wano mu ggwanga.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga polly Namaye yadde teyaayatukirizza linya lwa Muntu yenna, y’ategezezza nga bwebaliko bebaakutte ku by’okugezaako okutta Sheik Haruna Jjemba wiiki ewedde n’okutibwa kwa sheik Mustapha Bahiga nga era bano essaawa yonna baakutwalibwa mu mbuga z’amateeka bavunanibwe.
Mungeri yeemu alabudde abakulembeze bano okwegendereza abantu bebabeeramu n’obutamala gatambula buli wamu olwo obukuumi bwebaabawadde busobole okubagasa.
Sssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura y’awaayo abakuumi okukuuma abakulembeze bano abali ku lukalala lw’okulumbibwa.