Amawulire

Poliisi ekutte Abitex ku bantu abafiiridde mu kivvulu

Poliisi ekutte Abitex ku bantu abafiiridde mu kivvulu

Ivan Ssenabulya

January 2nd, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi ekakasizza nga bwekutte omutegesi w’ebivvulu Abbey Misunguzi abangi gwebamanyi nga ABTEX abeeko byajinyonyola ku byabaddewo ku Freedom City, abantu 10 bamale baffe nga bayingira omwaka 2023.

Ayogerera Poliisi mu gwanga Fred Enanga, abuulidde ab’amawulire ng’asinziira mu lukungaana lwa buli sabiiti e Naguru nga bwebakyaliko na bategesi ba ABTEX abalala bebawenja nga mukiseera kino bakyaliira kunsiko.

Poliisi egamba nti Abtex ne banne balagajadde ekyaviiriddeko abantu okufa.

Enanga agamba nti nebazadde b’abaana abafudde Poliisi etegeka kubaggurako musango olw’okutwala abaana abatanetuuka mu bifo eby’amasanyu.

Kigamibwa nti abantu abasoba mu 5000 bebaabadde bakungaanidde mu kifo kino.

Kati Poliisi egamba nti baagala okukakasa oba nga ddala abategezi baagoberedde enambika eyabaweebwa oba bagivuddeko nebekolera ebyabwe.