Amawulire
Poliisi ekutte agambibwa okusobya ku muwala we
Bya Abubaker Kirunda
Omusajja owemyaka 50 akwatiddwa poliisi e Iganga ku misango gyokusobya ku muala owe owemyaka 9.
Okusinziira ku musasai waffe Abubaker Kirunda, omukwate mutuuze ku kyalo Namundodi B mu gombolola ye Nakalama e Iganga.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino James Mubi agambye nti omwana abadde abeera ne jajja we, wabula kitaawe yalabye nnyina nga taliiwo kwekusobya ku mwana.
Mubi agambye nti omukwate bamuguddeko omusango gwokujjula ebitanajja, era agaliddwa ku CPS e Iganga.