Amawulire
Poliisi ekutte basatu by’obutemu
Bya Kirunda Abubaker
Poliisi e Jinja eriko abantu 3 b’ekutte nga kigambibwa nti benyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo ne batta abantu 2.
Omwogezi wa polisi mu kitundu kino Dianah Nandaula agambye nti abakwate batuuze mu gombolola ye Budondo nga kigambibwa nti bakakanye ku Rogers Mukama ne Nicolas Karagi ne babakuba ne babatta nga babalumiriza okutemula Rajab Sajjabi.
Poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.