Amawulire
Poliisi ekutte Omusajja esse Mutabaniwe
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi mu Disitulikiti y’e Kakumiro ekutte omusajja agambibwa okutta mutabani we.
Omugenzi ategerekese nga Joshua Haki-zimana 13 nga muyizi ku ssomero lya Kyakaregura Primary School.
Kigambibwa nti Munezero omutuuze ku kyalo Kakayo mugombolola yé Kasambya yafunye obutategeeragana ne mutabani we olw’ensonga ezitamanyiddwa, era mu nkola eno, yalonze ennyondo n’akuba Haki-zimana ku mutwe n’amutta .
Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Albertine akakasizza ensonga eno n’agattako nti omutemu ono asibiddwa ku poliisi y’e Kakumiro, waakusimbibwa mu kkooti avunaanibwe omusango gw’obutemu ng’okunoonyereza kuwedde.