Amawulire
Poliisi ekyagumbye e Busitema
Poliisi ekyagumbye ku ttendekero lye Busitema ng’eno nayo abayizi baali beekalakaasa
Ettendekero lino lyaggalwa ssabbiti ewedde oluvanyuma lw’abayizi okukulungula ennaku ssatu nga beekalakaasa
Abayizi bano beekalakaasa nga bawakanya eky’okwongeza ebisale by’okutikkirwa okuva ku mitwalo 10 okudda ku 20 ate nga yyo ensalo ebaweebwa yakendeera okuva ku mitwalo 45 okudda ku mitwalo 35
Ayogerera poliisi ye Bukedi Michael Odongo agamba nti abaddukanya ettendekero lino tebannasalawo ddi lwebaliggula nga y’ensonga lwaki basazeewo okusigala nga bagumbye ku ttendekero
Wabula mugumu nti akavuyo tekajja kuddamu kubaawo