Amawulire

Poliisi ekyali ku ntiko mukutulugunya  bannamawulire

Poliisi ekyali ku ntiko mukutulugunya bannamawulire

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Alipoota efulumiziddwa ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire mu ggwanga ki Human Rights Network for Journalists, eyomwaka guno eraze nti poliisi ekyali kuntiko mu kutulugunya bannamawulire.

Alipoota ennokodeyo okusomooza bannamawulire kwebaayitamu nga bakola egyabwe mu biseera ebyómuggalo ne mukulonda kwa 2021

Nga bannamawulire abaali bagoberera ebyali munkabi ya Robert Kyagulanyi, eyavuganya kubwa pulezidenti batulugunyizibwa byansuso ne gimu ku mikutu gya mawulire ne giggalalwa, yintaneti yagibwako abantu ne balemererwa okuboberera ebyali bigenda mu maaso ku social media.

Bwabadde afulumya alipoota eno mu kampala enkya ya leero, senkulu wekitongole kino, Robert Ssempala agambye nti bafuna misango 130 egya bannamawulire abatulugunyizibwa omwaka oguwedde.

Ku misango gino 82 gyakolebwa basirikale ba UPDF.