Amawulire

Poliisi ekyusizza mu ba ofiisa abaliwo ng’embizzi ziri ku palamenti

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Namaye new

Poliisi esambazze ebigambibwa nti ewummuzizza abakyala bana okua ku palamenti gyebabadde bakuuma lwakubeera mbuto.

Abakyala bano okuli Peace Mary, Namubiru Alaisa, Mirembe Rosette ne Christian Nakirya Christian  bakyusiddwa awatali kunyonyola kwonna

Ababaka mu palamenti basabye dda akulira poliisi Gen Kale Kaihura okunyonyola ku nsonga eno nga bagamba nti olubuto ssi bulwadde era tekiyinza kuwummuzisa Muntu

Wabula amyuka omwogezi wa poliisi Polly Namaye agamba nti bano beebamu ku ba ofiisa ba palamenti a bakyusiddwa olw’okulagajjala embizzi neziyingizibwa mu palamenti.

Namaye agamba nti ssi bakyala bano bokka beebakyusiddwa wabula ba ofiisa abasinga abaaliwo.