Amawulire
Poliisi erabudde ku bukuumi bwókunguudo mu biseera byénnaku enkulu
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi erabudde abantu bonna okubeera obulindaala ku nguudo nga sizoni y’ennaku enkulu esembera.
Omwogezi wa poliisi y’ebidduka Michael kananura asabye abantu okwegendereza enyo ebiseera bino okwewala obubenje obutetaagisa.
Kananura asabye abatambuza ebigere okukozesa amakubo gabwe nókwewala okusemberera ebimotoka ebyettise enyo mu kugenda okulya ennaku enkulu mu byalo byabwe.
Mungeri yemu asabye bannauganda okuloopa abatagoberera mateeka ga kunguudo okusobola okutaasa obulamu bwabalala.