Amawulire

Poliisi erabudde Mbabazi

Ali Mivule

July 24th, 2014

No comments

Kaihura at parliament

Poliisi esabye ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi okwewala okweyingizi mu nsonga z’okunonyereza ku ttemu eryakolebwa mu bitundu bye Kannungu n’bitundu ebiriranyewo.

Olunaku olw’eggulo ssabaminisita John Patrick Mbabazi  yasinzidde mu parliament naalumiirizza ssenkaggale wa poliisi Gen Kale kaihura ,okulagira basajja be okukwata abalonzi be mu bitundu bye Kanungu , poliisi yyo byeyegaana.

Tuwayizaamu n’amyuka omwogezi wa police mu ggwanga  Polly Namaye,natutegeeza nti  Kayihura ssiyakwata abantu bano omuntu,  era nga bano police okubakwata yesigama kumawulire gabakesi .

Ono agamba nti okukwata abantu abenjawulo kwekuusa ku bulumbaganyi obukyaase ennyo mu bitundu bye  kanungu, Ntoroko n’ekitta bantu mu bitundu bye Rwenzori.