Amawulire
Poliisi erambuludde okulungamya kw’entambula y’ebidduka
Bya Benjamin Jumbe
Poliisi y’okunguudo ekoze okulungamya kwebidduka, okutekeddwa okugobererwa olwaleero ngegwanga likuza olunnaku lwabkyala.
Emikolo gyegwanga emitngole gigend kukwatibwa ku kisaawe kyegwanga e Kololo nga gigenda kwetabwako omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni.
Omwogezi wa poliisi yebidduka Faridah Nampiima agambye nti wagenda kuberawo okutataganyizibwa eri abakozesa enguudo ezetolodde Kololo ngabagenyi bokka abayite era abalina stika, bebajja okukrizibwa ku nguudo ezimu.
Wabula oluguudo oluva e Kampala okudda e Jinja, terugenda kutataganyizibwa, atenga John babiiha Road lujja kusalwako ku City Oil e Kamwokya, neku bitaala bya Golf Course.
Nampiima era aliko okulabula kwakoze, eri abantu babulijjo abakozesa enguudo.