Amawulire

Poliisi eremeseza omwoleso gwa Meeya wé Kawempe

Poliisi eremeseza omwoleso gwa Meeya wé Kawempe

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Police enkya ya leero erinnye eggere mu mwoleeso ogubadde gutegekeddwa Mayor w’e Kawempe Emmanuel Sserujonji ku Akamwesi Shopping Mall ku luguudo oludda e Gayaza.

Omwoleso guno ogubadde gutandika leero, gubadde gwakukulungula ennaku 3 nga abagwetabyemu boolesa ebyo byebakola n’okutunda ebintu ku beeyi esoboka.

Okusinziira ku Mayor Sserunjonji, omwoleso guno gwegumu gubadde gwakutambulira wamu n’okwogera kwe eri banna kawempe abalambikire ebimu ku ebyo ebikoleddwa mu banga lyebakamala mu bukulembeze obw’ekisanja kino.

Kati Mayor Sserunjoji ng’ali wamu n’abategesi abalala okubadde Sylvia Nakyobe ne Charles Kisekka omukulembeze ku lukiiko olukulembeze e Kawempe boogeddeko ne bannamawulire ku kibaddewo.

Wabula Poliisi egamba nti bano tebaagoberedde mateeka nga bategeka omwoleso guno.

Luke Oweyesigire, ye mumyuka w’omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Kampala n’emiliraano.