Amawulire
Poliisi eri bulindaala ku bagala okwekalakasa
Bya Juliet Nalwooga
Akulira ebikwekweto mu poliisi AIGP Edward Ochom, ayisizza ekiragiro eri abaddumizi mu bitundu ebeyenjawulo, okubeera obulindaala.
Poliisi egamba nti basubira okwekalakaasa, mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo.
Mu bbaluwa gyeyawnadikidde abaddumizi ba poliisi, Ochom agambye nti basubira okwekalakaasa ngabavuganya gavumenti abekibiina kya NUP bebakuwomyemu omutwe.
Agambye nti bano bayita ku mitimbagano okukunga abantu okwekalakaasa, nga baliko nobubaka bwebagenda basasanya okuli obubaka “Time is now, oba ekiseera kyekino n’okuwera nti Museveni tajja kulayira”.
Kati Ochomo agambye nti nabo ngabebyokwerinda bamaze dda okubaga entekateeka egenda okugobererwa, ssinga abantu beyiwa ku nguudo okwegugunga.