Amawulire

Poliisi esabye abakulu bámasomero okuba ku bwerinde

Poliisi esabye abakulu bámasomero okuba ku bwerinde

Ivan Ssenabulya

September 18th, 2023

No comments

Bya Barbara Anyait,

Poliisi esabye abakulu b’amasomero okuba ku bwerinde wakati nga abaana badda ku masomero mu lusoma olugulawo taamu eyokusatu, olwo kutiisibwatiisibwa kwe bikolwa ebyobutujju ebiriwo ensangi zino.

Kino kiddiridde poliisi okutegeeza gyebuvuddeko nti yategulula boomu 6 mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.

Bwabadde ayogerako mu lukung’aana lwa bannamawulire olwa buli wiiki ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga awadde abakulira amasomero amagezi okwekebejja obulungi ebintu by’abayizi nga bayingira essomero.

Mu ngeri ey’enjawulo awa amagezi nti essomero likebere oba temuli biragalalagala n’ebintu ebirala ebyobulabe eri abayizi.