Amawulire

Poliisi etabuse ku bakozi,

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Kaihura meets child

Poliisi egenda kutandika okwetegereza kkampuni zonna ezigaba abakozi b’awaka

Bino biddiridde akatambi k’omukozi we waka eyalabiddwaako ng’atulugunya omwana n’atuuka n’okumutambulira ku mugongo

Jolly Tumuhirwe eyasoose okukaka omwana okulya yamukasuse wansi olwo n’atandika okumukubisa tooki nga tannamuwalampa ku mugongo kumulinnyako, ekikola ekyalese buli omu ng’asanyaladde.

Akulira ekitongole ekinonyereza ku misango Grace Akullo agamba nti bakuyita mu kitongole kyaabwe ekikola ku nsonga z’amaka  okulaba nti abakozi abatendekeddwa baweebwa empappula kwebafunira emirimu.

Yye akulira ebikwekweto mu poliisi Andrew Kaweesi agamba nti abantu basaanye okuwagira enteekateeka eno okukendeeza ku bakyaamu.

bbo Abakozi b’awaka bavumiridde ekikolwa kya mukozi munaabwe eyakwatiddwa ku lutambi ng’atulugunya omwana ow’omwaka ogumu

Abakozi bano abatendekebwa ab’ekibiina kya Platform for Labour Action bagamba nti ekikolwa kya munaabwe Jolly Tumuhirwe kyannaku era nga basabye aweebwe ekibonerezo ekikakali.

Abakozi bano wabula bagamba nti bonna sibabi ng’abakozesa balina okufuba okwetegereza gyebajja abakozi baabwe

Ggo amaloboozi agavumirira ekikolwa kino geegatiddwaako aba UNICEF nga kino kirwanirira ddembe lya baana.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa, omubaka w’ekibiina kino mu Uganda Aida Girma agambye nti ebikolwa by’omukozi ono birinyirira eddembe ly’abaana

Ono agamba omukozi ono asanye okuweebwa ekibonerezo ekikakali  kyokka ng’era bagaala enongosereza mu tteeka erikwata ku bano ziyisibwe kubanga ebibonerezo ebiriwo binafu nnyo

Omukozi eno wakudda mu kkooti nga 8 omwezi ogujja, asomerwe emisango emiggya egy’okugezaako okutta omwana.

Ensonga eno era kwetutadde essira mu kanyomero kaffe aka manya ekibuga n’engeria bantu gyebeyimirizaawo