Amawulire

Poliisi etubidde ku bya naggagga Kasiwuukira

Ali Mivule

October 20th, 2014

No comments

Kasiwukira burried

N’okutuusa kati poliisi tenazuula abagambibwa okutta nagagga  Erias ssebunya bangi gwebamanyi nga kasiiwukira.

Kasiwukira yatomerwa emmotoka kumpi n’amaka ge e Muyenga  bweyali akedde okukola dduyiro nga bweyali atera okukola buli lunaku.

Poliisi etebereza nti yatomerwa mu bugenderevu.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba baasudde dda enkesi buli wamu okuyigga emmotoka eyasse Kasiwukira.

Bino bizze ng’amaloboozi agasaba nti okunonyereza ku yatta Kasiwuukira kukolebwe mu bwangu era abavunaanibwa bakwatibwa.