Amawulire
Poliisi ewenja Dereeva atomedde Abalamazi 2 ne bafa ku lwé Masaka
Bya Gertrude Mutyaba ne Rita Kemigisa,
Poliisi eri mu kuyigga ddereeva wa bbaasi ekika kya Isuzu eya Perfect Company egambibwa okukoona abalamazi abakyala babiri okuva e Masaka enkya ya leero.
Akabenje akaabaddemu bbaasi Reg No. UAL 881Z kagudde ku St Lawrence -Nakati ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka ku ssaawa nga 3: 00 ez’oku makya
Abafudde ye Oliva Nabakooza ne Specioza Nambi nga bombi bava mu kigo ky’e Makondo mu ssaza ly’e Masaka.
Okusinziira ku mawulire agasoose, ddereeva wa bbaasi bwe eyabadde ava e Nsangi emmotoka yamulemeredde, n’akyuka okuva ku layini ye n’atomera abalamazi ababiri abaabadde bagenda okwetaba mu bikujjuko by’olunaku lw’abajulizi ebigenda okubaawo 3rd June 2023 e Namugongo.
poliisi eraga nti emirambo gya abamugenzi gitwaliddwa mu ggwanika lya Mulago City Mortuary okwekebejjebwa.
Poliisi egamba nti bbaasi eno ekwatiddwa era okunoonyereza kutandise okuzuula ekituufu ekyavuddeko akabenje kano.
Eve Nanziri, katekisimu okuva mu kigo ky’e Makondo agamba nti gwe mulundi ogusoose abagenzi okutambula n’ebigere okugenda e Namugongo.