Amawulire

Poliisi ewenja omusajja asse mukyalawe nábaana e Wakiso

Poliisi ewenja omusajja asse mukyalawe nábaana e Wakiso

Ivan Ssenabulya

August 25th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi e Wakiso etandise okunoonyeereza ku musajja agambibwa okutiriimbula mukyalawe n’abaana babwe   n’oluvanyuma bano nabaziika.

Bino  biddiridde maama w’abaana bano okugezaako okubasuulawo agende akube ekyeyo emitala w’amayanja.

Ku baana basse omukulu abadde wa myaka 2 n’omulala abadde wa myeezi 3 gyokka egy’okubukulu.

Amyuka ayogerera Poliisi mu bitundu bya Kampala n’emililaano Luke Oweyesigire, atubuulidde nti bino byonna byabadde ku kyaalo Bwotansimbi wali mu muluka gw’e Buloba mu Gombolola y’a Wakiso mu district yemu.

Oweyesigire agamba nti kali butemu ono atemeza mabega wa mitayimbwa era nga emirambo gya bano bonna gyasobodde okuziikurwa nga gitandise n’okuvunda okuva mu kinnya mweyali yagiziika.