Amawulire
Poliisi ewenja omuvubuka eyasse Muganziwe
Bya Prossy Kisakye,
Poliisi e Mukono etandise okuwenja omuvubuka eyasse muganziwe nasibira omulambo gwe munyumba nóluvanyuma nákubira abéwaabwe banone omulambo.
Enock Wabembasa yali mu kunonyezebwa poliisi ate gwe yasse ategerekese nga Fatuma Namboozo nga babadde ba pangisa mu Nabuti zone e Mukono.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, anyonyodde nti Wabembasa bweyamaze okutta muganziwe yakozeseza esimu yómugenzi nakubira abafamile nga bategeeza nga bwasse omuntu wabwe bakime omulambo gwe ate nti teyejjusa kyeyakoze.
Poliisi erowooza nti omuvubuka ono yandiba nga abadde akozesa ebiragalaragala.