Amawulire
Poliisi ewera okwambalira abanagezaako okukyankalanya emirembe
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi erayidde okusigala ngékozesa eryaanyi okugumbulula enkungana ezimenya amateeka ezitegekebwa abakulembeze nga tebagoberedde tteeka lya POMA.
Bino byogeddwa omwogezi wa poliisi, Fred Enanga, oluvanyuma lweyavuganya kuntebbe eyomuk weggwanga Dr.Kiza Besigye okutegeeza olupapula lwa daily monitor olunaku lweggulo nti yasibiddwa mu makage okuvira ddala ku lw’okuna olwa ssabiiti ewedde, bweyakwatibwa nga bamutangira okutambuza ebigere, bweyali yekalakaasa olwe bbeeyi ye bintu eyekannamye.
Enanga agambye nti abaddumizi ba poliisi bonna bali buli ndaaala okwenganga abanagezaako okuleeta efujjo.
Poliisi egamba nti ebikolwa nge bya besigye bitataganya abantu abalala ababeera mu kukola ekintu abakuuma ddembe kye batasobola kukkiriza.