Amawulire

Poliisi eyaza buli ayingira ewa Besigye- Yezoobye ne mukyala we

Ali Mivule

March 19th, 2014

No comments

Police deploys

N’okutuusa kati poliisi ekyagumbye mu maka ga loodi meeya Erias Lukwago e Wakaliga nag’eyali ssenkagale wa FDC Dr,Kiiza Besigye e Kasangati.

E Kasangati poliisi eyaza abo bonna abayingira n’okufuluma amaka ga Besigye.

Wabula wabaddewo akavuvungano abasirikale ba poliisi bwebagezezaako okugaana Muka Besigye Winnie Byanyima okufuluma amaka gaabwe.

Oluvanyuma akiriziddwa okufuluma oluvanyuma lw’okwaaza emmotoka gyabaddemu nga ali bweru.

Kino Besigye akivumiridde nga okulinyirira akaseera kaabwe ak’eddembe.

Besigye akyaali mu makage nga era talina nteekateka zonna za kuva waka olwaleero.

Ye Loodi meeya Lukwago akyakalambidde nga olukungaana lw’e Katwe bwerulina okubeerayo kakibe ki era ye alinze kaseera katuufu afulume amaka ge.

Ebyo bibadde bikyali bitoy yyo poliisi neyewozaako ku ky’okugumba mu maka ga Besigye ne Lukwago.

Adumira poliisi ye Kaangati , James Kawalya agamba kino bakikoze okwewala obuvuyo mu kibuga wakati.