Amawulire

Poliisi eyongedde obukuumi kunsalo e Mpondwe

Poliisi eyongedde obukuumi kunsalo e Mpondwe

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi egamba nti etaddewo enkola eziwerako okutangira abantu okwesogga Uganda n’obulumbaganyi bwonna obuyinza okubaawo ku nsalo e Mpondwe eyawula Uganda ne DRC.

Kino kiddiridde obulumbaganyi obwekitujju obwabadewo olunaku lweggulo mu buvanjuba bwa congo ku kkanisa ya balokole e Lhubirira, esangibwa mu kiromita nga 4 okuva nsalo y’e Mpondwe, abantu 10 bebafudde n’abalala 47 ne bafuna ebisago.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe e Naguru, omwogezi wa Poliisi Fred Enanga agambye nti bayimirizza okutambuza amaato g’emigugu n’abasaabaze okusomoka ennyanja Albert n’amazzi amalala.

agasseeko nti bongedde amaanyi mu kulawuna mu kibira ky’e Bugoma n’emitala w’ensalo, okwongera amaanyi mu by’okwerinda ku bifo ebinene, omuli obutale n’ebibangirizi we basimba e mmotoka n’ebirala bye bayinza okukolako obulumbaganyi.

Mu kiseera kino alajanidde abantu okubeera obulindaala n’obutatya olw’emitendera gino egigendereddwamu okubawa obukuumi bwabwe.