Amawulire

Poliisi ezeemu okulabula abavugisa ekimama

Poliisi ezeemu okulabula abavugisa ekimama

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2022

No comments

Bya Barbara Anyait,

Ekitongole kya poliisi ye bidduka kizeemu okulabula abavuzi okwewala okuvugisa ekimama nóbutaba na biwandiiko.

Okulabula kuno kukolebwa omwogezi wa poliisi ye bidduka Farida Nampiima mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru.

Okwogera bino ng’abantu 11 bebafiiridde mu bubenje bwokunguudo ku wiikendi ewedde

Agambye nti omuwendo gwobubenje bwokunguudo gweyongedde nga mu wiiki eyatandika nga 2nd – 9th July 2022, obubenje 328 bwebwagwawo, abantu 62 ne bafa 180 ne balumizibwa nyo ate 86 bafuna ebisago si byamaanyi