Amawulire
Poliisi tenafuna bujjulizi nti abatujju ba IS bebateze boomu e Komamboga
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi evudeyo newakanya ebigambibwa nti abatujju ba Islamic state bebabadde emabega wóbulumbaganyi bwa boomu obwakolebwa mu kifo webalira enyama yé mbizzi e komamboga omwafiiridde omuntu omu nábalala 3 ne balumizibwa.
Okusinzira ku mukutu gwa mawulire ogwa Reuter’s news agency, abatujju ba Islamic state bavudeyo ne bategeeza nga bebakoze obulumbaganyi buno.
Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, akulira ekitongole kya poliisi ekirwanyisa obutujju Abbas Byakagaba, agambye nti Uganda tettidde byayogeddwa batujju bano kuba gavt etunulidde kya kubonereza bonna abakoze obulumbaganyi buno.
Byakagaba agamba nti okunonyereza ku bakoze obulumbaganyi kutandise eranga batunulidde nábayekera ba ADF abasimba amakanda mu ggwanga lya DRC
Asabye ne bannauganda okuba obulindaala
Mungeri yemu omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga agambye nti tebanafuna bujjulizi bwonna bulaga nti abatujju aba Islamic state bebakubye boomu e komamboga kuba kye bamanyi kiri nti abalumbaganyi babadde bogera lulimi luganda.