Amawulire

Poliisi yegaanye okusigaza Ente zebanunula ku Bakaramoja

Poliisi yegaanye okusigaza Ente zebanunula ku Bakaramoja

Ivan Ssenabulya

April 4th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi evudeyo neyesamba ebyogerwa abamu ku babaka ba palamenti nti ente zebanunula okuva ku babbi bente e Karamoja tebazidiza bannyinizo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti baliko entekateeka gyebagoberera ku nte eziba zinunuddwa okuva eri aba Karamoja era bwebazuula bannyinizo bazizaayo misana mu lujjudde lwa bannamawulire nabakadde be kitundu.

Ono asabye abatanafuna nte zaabwe okugenda mu bilaalo ebyolukale ebyatekebwawo okwetegereza oba mulimu ezaabwe.

Wabula asabye ababaka ba palamenti abava e Karamoja okwasanguza omusirikale wa poliisi yenna gwe bamanyi ayinza okweza ente za batuuze.

Enanga atuubulidde nti mu bikwekweto byebakoze mu ssabiiti ewedde basobodde okununula ente ezisoba mu 400 ne mbuzi 400 ezaali za bibbwa abalwanyi aba karamoja. Ne mmundu 8 nga mulimu amasasi 13 nabyo byazuulibwa.