Amawulire
Poliisi yegaanye okutuntuza aba Mbabazi
Poliisi yeganye ebigambibwa nti etuntuza abawagizi ba sabaminisita w’eggwanga, Amama Mbabazi abaagala yesimbewo ku bukulembeze bw’eggwanga mu 2016.
Mu kiwandiiko omwogezi wa poliisi mu ggwanga Judith Nabakooba agamba poliisi tetuntuza Muntu yenna olw’endowooza zabwe ku by’obufuzi nga bwebizze byogerwa mu mawulire.
Nabakooba agamba nti yadde nga okunonyereza ku buzzi bw’emisango obwekuusa ku bukuubagano mu kibiina kino kukyagenda maaso, bbo tebeyingiza mu nsonga zakusika mugwa mu kibiina kino.
Agamba bbo essira balitadde ku bantu abagenda bakungaanaya emikono gy’abantu nga babawa enguzi nga era bakuvunanibwa singa gubasinga wabula bakwejerezebwa singa tebasangibwa namusango gwonna.