Amawulire
Poliisi yetegekedde Luweero
Ng’ebula ssaawa ntono abe Luweero balonde omubaka omukyala omuggya, abatunuulizi b’eby’okulonda basabiddwa obutasukka webalina kukoma
Ebibiina bingi bitaddewo abatunuulizi b’eby’okulonda nga n’abamu baavudde wano kampala
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Luweero, Lameck Kigozi agamba nti tebagenda kugaana Muntu yenna kulondoola kulonda kati anagoberera amateeka
Kigozi agambye nti basobodde era okukoma ku babadde bawenja akalulu ku ssaawa esembayo kubanga zino zawedde jjjo